Isaiah 18

Obunnabbi Obukwata ku Kuusi

1 aZikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya,
eri emitala w’emigga gya Kuusi,
Mu biro bya Isaaya, waaliwo bafalaawo aba Esiyopya abaafuganga Misiri. Abo be baanoonya okubeerwa okuva eri Abapalesitayini, balwanyise Bwasuli

2 cetuma ababaka ne bagendera mu maato
ag’ebitoogo ku nnyanja.

Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi,
eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa,
ensi eyawulwamu emigga.

3 dMmwe mwenna abantu abali mu nsi,
mmwe ababeera ku nsi,
bendera lweriwanikibwa ku nsozi,
muligiraba,
era ekkondeere bwe lirifuuyibwa,
muliriwulira.
4 eKubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti,
“Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange,
ng’olubugumu olutemagana mu musana,
ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”
5 fKubanga okukungula kuliba tekunatuuka,
okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde,
aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo,
n’amatabi agalanda aligasalira.
6 gGonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu
n’ensolo ez’ensi.
Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya,
n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu.
7 hMu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo,

ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi,
ensi ey’eryanyi,
eyawulwamu emigga,
ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.

Copyright information for LugEEEE